Isaiah 17:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo ebibuga byabwe bye beesiga birirekebwa ttayo ng'ebibuga by'Abakivi n'Abaamori bye baaleka nga badduka abantu ba Yisirayeli; wonna kiriba matongo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo ebibuga byabwe eby’amaanyi Abayisirayiri bye baabalesa, biriba ng’ebifo ebyameramu ebisaka ne kalandalugo. Byonna birisigala matongo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli ebibuga byabwe eby'amaanyi abaana ba Isiraeri bye baabalesa, biriba ng'ebifulukwa mu kibira ne ku ntikko y'olusozi, era biriba nsiko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, ebibuga eby'amaanyi biriba ebifulukwa ng'ebiri mu bibira n'ebiri ku ntikko z'ensozi, ebyayabulirwa ng'Abayisirayeli batuuka, era birizika ne bifuuka matongo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli ebibuga bye eby'amaanyi biriba ng'ebifulukwa mu kibira ne ku ntikko y'olusozi, ebyaviibwamu mu maaso g'abaana ba Isiraeri era biriba nsiko.