Isaiah 18:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eweereza ababaka mu nnyanja, ku mazzi mu bwato obw'ebitoogo. “Mmwe ababaka abangu, mugende mu bantu abawanvu ab'omubiri omuweweevu, eri abantu ab'entiisa ab'okumpi n'ab'ewala, eri eggwanga ery'amaanyi erigenda lirinnyirira, eririna ensi egenda efukirirwa emigga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
etuma ababaka ne bagendera mu maato ag’ebitoogo ku nnyanja. Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu, eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi, eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa, ensi eyawulwamu emigga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
etuma ababaka ku Kiyira, ne bagendera mu bibaya ku mazzi! Mugende, mmwe ababaka abangu, eri eggwanga eririna abantu abawanvu ab'emibiri emiweweevu, eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga ery'amaanyi era eriwangula amalala, ensi eyawulwamu emigga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi eyo etuma ababaka ku nnyanja bayite ku mazzi mu bibaya, ng'egamba nti: “Mugende mu bwangu mu nsi eyawulwamu emigga, mutwalire obubaka abantu abawanvu era ab'olususu oluweweevu, abaakuba ensi yonna entiisa kasookedde babaawo n'okutuusa kati. Obubaka bugamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
etuma ababaka ku nnyanja mu bibaya ku mazzi, ng'eyogera nti Mugende, mmwe ababaka abangu, eri eggwanga eggwanvu era eggweweevu, eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga erigera era eririnnyiririra ddala, ensi yaabwe emigga gigisazeemu!