Isaiah 18:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe abantu abali ku nsi, nammwe abali ku nkulungo y'ensi, bendera bw'erisimbibwa ku lusozi, mutunule; eŋŋombe bw'erivuga, muwulire;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe mwenna abantu abali mu nsi, mmwe ababeera ku nsi, bendera lweriwanikibwa ku nsozi, muligiraba, era ekkondeere bwe lirifuuyibwa, muliriwulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe mwenna abatuula mu nsi, nammwe ababeera ku ttaka ly'ensi, ebendera bw'ewanikibwanga ku nsozi, mutunulanga, era ekkondeere bwe lifuuyibwanga, muwuliranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Mwenna abatuuze b'omu nsi, abantu abali mu buli ggwanga, mutunulanga ne mulaba nga bbendera esimbiddwa ku nsozi, ng'ekkondeere lifuuyiddwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe mwenna abatuula mu nsi, nammwe ababeera ku ttaka ly'ensi, ebendera bw'ewanikibwanga ku nsozi, mulabanga; era ekkondeere bwe lifuuyibwanga, muwuliranga.