Isaiah 18:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga Omukama kino ky'agamba: “Nzija kweddira mu kifo kyange neerolere mu kasirise, ng'ebbugumu ekkalangufu mu musana, oba ng'olufu mu bbugumu ery'amakungula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti, “Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange, ng’olubugumu olutemagana mu musana, ng’ekire ky’omusulo mu lubugumu olw’omu biro eby’amakungula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti, “Ndisirika, era ndiraba nga nnyima mu kifo kyange we ntudde; ng'olubugumu olutemagana mu musana, ng'ekire ky'omusulo mu lubugumu olw'omu biro eby'amakungula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Mukama aŋŋambye nti: ‘Mu kifo kyange mwe mpummulira, ndisirika ne ntunuulira, nga ndi ng'ebbugumu eribuubuukira mu kasana akeememula, era ng'omusulo ogusitukira mu lubugumu lw'obudde obw'amakungula.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Ndisirika, era ndiraba nga nnyima mu kifo kyange we ntudde; ng'olubugumu olutemagana mu musana, ng'ekire ky'omusulo mu lubugumu lw'omu biro eby'okukunguliramu.