Isaiah 18:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ng'amakungula tegannatuuka, ng'okwanya kuwedde, ng'ekibala ekitaddeko tekinnayengera, obuwakatirwa alibuggyako n'ebiwabyo, n'amatabi agalanda aligatema n'agaggyako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okukungula kuliba tekunatuuka, okumulisa nga kuwedde, n’ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde, aliwawaagula obutabi n’ebiwabyo, n’amatabi agalanda aligasalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okukungula nga tekunnabaawo, okumulisa nga kuwedde, n'ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengera, aliwawaagula obutabi n'ebiwabyo, n'amatabi agalanda aligaggyawo n'agatema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alizikiriza abaserikale b'abantu abo nga tebannalumba, nga bwe kyandikoleddwa ku muti ng'okumulisa kuwedde, n'ebimuli nga bifuuse ebibala ebyengedde, naye okukungula nga tekunnabaawo, oli n'atema amatabi n'agawanulayo yonna gye galandidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okukungula nga tekunnabaawo, okumulisa nga kuwedde, n'ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengera, aliwawaagula obutabi n'ebiwabyo, n'amatabi agalanda aligaggyawo n'agatema.