Isaiah 18:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo ebirabo biriweerezebwa Omukama w'Amagye nga biva mu bantu abawanvu ab'omubiri omuweweevu, mu abantu ab'entiisa ab'okumpi n'ab'ewala, mu ggwanga ery'amaanyi erigenda lirinnyirira, eririna ensi egenda efukirirwa emigga. Ebirabo birireetebwa ku lusozi Siyoni, ekifo ky'erinnya ly'Omukama w'Amagye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo, ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu, abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi, ensi ey’eryanyi, eyawulwamu emigga, ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo ekirabo kirireeterwa Mukama ow'eggye okuva mu bantu abawanvu ab'emibiri emiweweevu, n'okuva eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga ery'amaanyi era eriwangula amalala, ensi eyawulwamu emigga, ku lusozi Sayuuni, ekifo eky'erinnya lya Mukama ow'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abo abawanvu ab'olususu oluweweevu abaakuba ensi yonna entiisa kasookedde babaawo n'okutuusa kati, era abalina ensi eyawulwamu emigga, ekiseera kirituuka ne baleetera ekirabo Mukama Nnannyinimagye mu kifo kye bamusinzizaamu ku Lusozi Siyooni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo ekirabo kirireeterwa Mukama ow'eggye eky'abantu abawanvu era abaweweeu, n'okuva eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga erigera era eririnnyiririra ddala, ensi yaabwe emigga gigisazeemu, eri ekifo eky'erinnya lya Mukama ow'eggye, olusozi Sayuuni.