Isaiah 19:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu b'e Zowani nga basiru! Ababuulirizi ba Faraawo abagezi amagezi bamuwa ga kisiru. Mugamba mutya Faraawo nti: “Nze ndi mwana wa bagezi, mwana wa bakabaka ab'edda?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala, n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa. Mugamba mutya Falaawo nti, “Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakulu ab'e Zowani basiruwalidde ddala; n'abagezigezi ba Falaawo bateesa bya busiru. mugamba mutya Falaawo nti, “ Ndi mwana wa bagezi, omwana wa bassekabaka ab'edda?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze b'e Zowani, gabaweddeko amagezi. Abawabuzi ba Kabaka w'e Misiri bamubuulira bimuwubisa. Kale bamugamba batya nti ddala bo be basika ab'abawi b'amagezi, n'aba bassekabaka ab'edda?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakulu ab'e Zowani basiruwalidde ddala; okuteesa kw'abateesa ba Falaawo abakiza amagezi kufuuse ng'okw'ensolo: mugamba mutya Falaawo nti Ndi mwana wa bagezi, omwana wa bassekabaka ab'edda?