Isaiah 19:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Abamisiri baliba ng'abakazi; balikankana olw'okutya nga balaba Omukama w'Amagye awanise omukono n'agubagololerako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli Misiri erifaanana ng'abakazi, era erikankana eritya olw'okukunkumula kw'omukono gwa Mukama ow'eggye, ogugoloddwa ku yo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kirituuka, Abamisiri ne batya ng'abakazi. Balitya ne bakankana, bwe baliraba nga Mukama Nnannyinimagye agolodde omukono gwe okubabonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli Misiri erifaanana ng'abakazi: era erikankana eritya olw'okukunkumula kw'omukono gwa Mukama ow'eggye, gw'akunkumulira ku yo.