Isaiah 19:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi ya Yuda eriba ya ntiisa ku Bamisiri; buli gwe banaagambanga ku linnya lya Yuda, balyesisiwala nga balabye entegeka Omukama w'Amagye gy'akoze okubalwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa Mukama Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anaagibuulirwangako anaatyanga, olw'okuteesa kwa Mukama ow'eggye, kw'ateesa ku yo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggwanga lya Buyudaaya lirikwasa Abamisiri entiisa. Buli awulira nga balyogerako anaatyanga, olw'ebyo Mukama Nnannyinimagye by'ategese okubatuusaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anaagibuulirwangako anaatyanga, olw'okuteesa kwa Mukama ow'eggye, kw'ateesa ku yo.