Isaiah 19:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo, mu nsi Misiri mulibaamu ebibuga bitaano ebyogera olulimi lwa Kanaani; biryeyama okukolagana n'Omukama w'Amagye; ekimu ku byo kiyitibwa Kibuga kya Njuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli waliba ebibuga bitaano (5) mu nsi y'e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, ne birirayira Mukama ow'eggye. Ekimu kiriyitibwa Kibuga kya kuzikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, olulimi Olukanaani lulyogerwa mu bibuga bya Misiri bitaano, ng'abantu baayo balayira Mukama Nnannyinimagye. Ekibuga ekimu ku byo kiriyitibwa “Kibuga kya Kuzikirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli waliba ebibuga bitaano mu nsi y'e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, ne birayirira Mukama ow'eggye; ekimu kiriyitibwa nti Kibuga kya kuzikirira.