Isaiah 19:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nzija kusiikulira Omumisiri Mumisiri munne, balirwanagana buli muntu ne muganda we; omuntu ne mukwano gwe, ekibuga n'ekibuga kinnaakyo, obwakabaka n'obwakabaka bunnaabwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri, balwane buli muntu ne muganda we, na buli muntu ne muliraanwa we; ekibuga n’ekibuga, obwakabaka n’obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndirwanya Abamisiri n'Abamisiri, era balirwana buli muntu ne muganda we, na buli muntu ne muliraanwa we; ekibuga n'ekibuga, obwakabaka n'obwakabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ndireeta olutalo mu Bamisiri buli muntu n'alwana ne muganda we era buli omu ne muliraanwa we, ekibuga ne kirwana n'ekibuga kinnaakyo, ne bakabaka ne bavuganya ku buyinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndirwanya Abamisiri n'Abamisiri: era balirwaana buli muntu ne muganda we; na buli muntu ne muliraanwa we; ekibuga n'ekibuga, obwakabaka n'obwakabaka.