Isaiah 19:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bye biribeera akabonero n'obujulizi bw'Omukama w'Amagye mu nsi y'e Misiri. Bwe balitemera Omukama omulanga olw'abababonyaabonya, alibasindikira omununuzi, alibawolereza n'abanunula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era eriba kabonero era omujulirwa eri Mukama ow'eggye mu nsi y'e Misiri: kubanga balikaabira Mukama olw'abajoozi, naye alibaweereza omulokozi, era omukuumi, naye alibalokola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obwo buliba bubonero era obujulizi obulaga Mukama Nnannyinimagye nga bw'ali mu nsi y'e Misiri. Era Abamisiri bwe balikoowoola Mukama nga banyigirizibwa, alibatumira omuyambi ow'amaanyi alibataasa, n'abawonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eriba kabonero era omujulirwa eri Mukama ow'eggye mu nsi y'e Misiri: kubanga balikaabira Mukama olw'abajoozi, naye alibaweereza omulokozi, era omukuumi, naye alibalokola.