Isaiah 19:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alikuba Misiri, alibakuba ate n'abawonya. Balikyukira eri Omukama, naye n'abaanukula okwegayirira kwabwe n'abawonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Mukama alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama alikuba Misiri, ng'akuba era ng'awonya; nabo balidda eri Mukama, naye alyegayirirwa bo, era alibawonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alibonereza Abamisiri, kyokka ate b'abonerezza alibawonya. Balikyukira gy'ali, ne bamwegayirira, n'abawonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama alikuba Misiri, ng'akuba era ng'awonya; nabo balidda eri Mukama, naye alyegayirirwa bo, era alibawonya.