Isaiah 19:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye alibawa omukisa ng'agamba nti: “Omukisa gubeere ku Misiri abantu bange, ne ku Assuri omulimu gw'omukono gwange, ne ku Yisirayeli obusika bwange.” Ku Misiri ne Kuusi olw'okuwambibwa kwa Asudodi
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Mukama ow'eggye abawadde omukisa, ng'ayogera nti Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n'Obwasuli omulimu gw'emikono gyange, ne Isiraeri obusika bwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama Nnannyinimagye aligawa omukisa ng'agamba nti: “Misiri Eggwanga lyange, ne Assiriya Nze Nzennyini lye natonda, ne Yisirayeli lye neeroboza okuba eryange, gaweebwe omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Mukama ow'eggye abawadde omukisa, ng'ayogera nti Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n'Obwasuli omulimu gw'emikono gyange, ne Isiraeri obusika bwange.