Isaiah 19:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamisiri ŋŋenda kubawaayo mu mikono gy'omufuzi omukambwe, kabaka ow'entiisa agenda kubafuga,” Omukama Katonda w'Amagye bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndigabula Abamisiri mu mukono gw’omufuzi omukambwe, era kabaka ow’entiisa alibafuga, bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndigabula Abamisiri mu mukono gw'omufuzi omukambwe; era kabaka ow'entiisa alibafuga, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiwaayo Abamisiri ne bafugibwa omufuzi musibiramubbwa; kabaka omukambwe alibafuga. Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze ŋŋambye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndigabula Abamisiri mu mukono gw'omwami omukambwe; era kabaka omukanga alibafuga, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.