Isaiah 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebimera ku Kiyira, ku mugga we guyiira n'ebirime byonna ku lubalama lwa Kiyira birikala; birifuumuuka ne bibulawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebimera ebiri ku Kiyira, ku lubalama lwa Kiyira kwennyini, ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira, birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebimera ebiri ku Kiyira, ku lubalama lwa Kiyira, ne byonna ebyasigibwa ku Kiyira, birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuddo n'ebisigibwa byonna ku lubalama lw'omugga ogwo, biriwotoka ne bifa, ne bisaanawo ne bivaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amalundiro agali ku Kiyira, ku lubalama lwa Kiyira kwennyini, ne byonna ebisigibwa ku Kiyira, birikala, birigobebwawo, so tebiribaawo nate.