Isaiah 19:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abavubi balikaaba ne balaajana, bonna abasuula amalobo mu Kiyira baliwooba, n'abasuula obutimba mu mazzi baliyongobera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’abavubi balisinda ne bakungubaga, n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'abavubi balikungubaga ne bakaaba, n'abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira, balinakuwala, n'abo abatega obutimba mu mazzi baliggwaamu amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era abaloba n'abavubiramu, balinakuwala ne bakaaba. Amalobo n'obutimba bye balina, biriba tebikyabagasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abavubi balikaaba, n'abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira balinakuwala, n'abo abasuula ebiragala mu mazzi baliggwaamu amaanyi.