Isaiah 19:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaluka engoye eza kitaani baliterebuka, n'abalanga engoye eza ppamba nabo bwe batyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa, n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate abo abakola omulimu ogw'obugoogwa obusunsule, n'abo abaluka engoye enjeru, balikeŋŋentererwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakola ebirukibwa mu bugoogwa, n'abatunga engoye eza ppamba, biribabula ne basoberwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate abo abakola omulimu ogw'obugoogwa obusunsule, n'abo abaluka engoye enjeru, balikwatibwa ensonyi.