Isaiah 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yingira mu lwazi, weekukume mu nfuufu, weekweke entiisa y'Omukama n'ekitiibwa ky'obukulu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugende mwekweke mu njazi, mwekweke mu binnya wansi mu ttaka, nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda, nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yingira mu lwazi, weekweke mu nfuufu, mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mudduke muyingire mu mpuku z'omu njazi, mwekweke mu nfuufu, nga mudduka Mukama ow'entiisa, era oweekitiibwa n'obuyinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yingira mu lwazi, weekweke mu nfuufu, mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe;