Isaiah 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso g'omuntu ow'olunkulu galissibwa wansi, n'okwekuza kw'omuntu kulitoowazibwa, ku olwo Omukama yekka y'aligulumizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu n’amalala ge lwe birizikirizibwa, era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okulalambala kw'abantu kuliwanulibwa, n'amalala g'abantu galikutamizibwa, era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku lujja kutuuka, okwekuluntaza kw'abantu lwe kulimalibwawo, n'okwegulumiza kwabwe lwe kulizikirizibwa. Okuva olwo, Mukama yekka ye aligulumizibwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okulalambala kw'abantu kuliwanulibwa, n'amalala g'abantu galikutamizibwa, era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.