Isaiah 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye ategekedde olunaku lwe buli yenna ayeekuluntaza na buli yenna ayeekuza; balitoowazibwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese eri abo bonna ab’amalala era abeewanise, eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde okwemanya n’okwewulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga walibaawo olunaku lwa Mukama ow'eggye eri byonna ebyekuza ebirina amalala, n'eri byonna ebigulumizibwa era biriwanulibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga walibaawo olunaku, Mukama Nnannyinimagye kw'alitoowaliza bonna abeekuza ne beewanika, na buli eyeekulumbaza ne yeegulumiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga walibaawo olunaku lwa Mukama ow'eggye eri ebyo byonna ebyekuza ebirina amalala, n'eri byonna ebigulumizibwa; era biriwanulibwa: