Isaiah 2:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
buli ntolookyo zonna ez'omu Lebanoni empanvu, ennangaavu, n'emivule gyonna egy'omu Basani,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alizikiriza emiti gy’omu Lebanooni, emiwanvu emigulumivu, n’emivule gyonna egya Basani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eri enfugo zonna eze Lebanooni, empavu ezigulumizibwa, n'eri emivule gyonna egy'e Basani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alizikiriza emiti gyonna emiwanvu egy'omu Lebanooni, n'emivule gyonna egy'e Basani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'eri enfugo zonna eza Lebanooni, empanvu ezigulumizibwa, n'eri emivule gyonna egya Basani;