Isaiah 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwewanika kw'omuntu kulissibwa wansi, n'okwekuza kw'abantu kulitoowazibwa; ku olwo Omukama yekka y'aligulumizibwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka, n’amalala g’abantu galissibwa; era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era okugulumizibwa kw'abantu kulikutamizibwa, n'amalala g'abantu galiwanulibwa; era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okugulumizibwa kw'abantu kulitoowazibwa, n'okwekulumbaza kwabwe kwonna kulimenyebwa. Ku lunaku olwo, Mukama yekka ye aligulumizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era okugulumizibwa kw'abantu kulikutamizibwa, n'amalala g'abantu galiwanulibwa; era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.