Isaiah 2:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu baliddukira mu mpuku z'omu njazi, ne mu binnya by'omu ttaka okwekweka entiisa y'Omukama n'ekitiibwa ky'obukulu bwe, lw'alisituka okukankanya ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja, ne mu binnya mu ttaka, nga badduka entiisa n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda, bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abantu baligenda mu mpuku ez'amayinja, ne mu bunnya obw'ettaka, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu baliyingira mu mpuku ez'omu njazi, ne mu bunnya obusime mu ttaka, okwekweka Mukama ow'entiisa era n'ekitiibwa n'obuyinza, bw'alyesowolayo okukuba ensi entiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abantu baligenda mu mpuku ez'amayinja, ne mu bunnya obw'ettaka, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.