Isaiah 2:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo abantu baliddira ebifaananyi byabwe ebya balubaale ebya ffeeza ne zaabu bye beekolera okusinza, ne babikasukira emmese n'ebinyira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, n’abakole mu zaabu, be beekolera nga ba kusinzanga, ne babakanyuga eri emmese n’eri ebinyira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala ebifaananyi byabwe eby'effeeza n'ebifaananyi byabwe eby'ezaabu, bye beekolera okusinzanga, eri emmese ne binyira,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku olwo bwe lulituuka, abantu balisuula eri ebifaananyi bye basinza, ebikole mu zaabu ne mu ffeeza, era balibirekera mmese na buwundo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olwo omuntu alisuulira ddala ebifaananyi bye eby'effeeza n'ebifaananyi bye eby'ezaabu, bye baamukolera okusinzanga, eri emmese n'eri ebinyira;