Isaiah 2:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne beefubitika mu mpampagama z'enjazi ne mu miwaatwa gy'amayinja, okwekweka entiisa y'Omukama n'ekitiibwa ky'obukulu bwe lw'alisituka okukankanya ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balidduka ne beekukuma mu mpuku ez’amayinja amaatifu nga badduka entiisa n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda, bwaliyimuka okukankanya ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bagende mu mpuku ez'amayinja, ne mu nkonko ez'amayinja amaatifu, okuva mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bayingira mu mpuku ez'omu njazi, ne mu mpompogoma z'amayinja agaayatika, okwekweka Mukama ow'entiisa era oweekitiibwa n'obuyinza, bw'alyesowolayo okukuba ensi entiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bagende mu mpuku ez'amayinja, ne mu nkonko ez'amayinja amaatifu, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.