Isaiah 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bangi balijja, ne bagamba nti: “Mujje twambuke ku lusozi lw'Omukama, eri Ekiggwa kya Katonda wa Yakobo, atuyigirize amakubo ge, tutambulire mu bukubo bwe.” Kubanga etteeka liriva mu Siyoni, n'ekigambo ky'Omukama kiriva mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bangi balijja bagambe nti, Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama, mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo, alyoke atuyigirize amakubo ge, tulyoke tutambulire mu mateeka ge. Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni, era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti, Mujje, twambuke eri lusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo, era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze; kubanga mu Sayuuni mwe mulifuluma amateeka, n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bangi balijja ne bagamba nti: “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, mu Ssinzizo lya Katonda wa Yakobo, atuyigirize empisa z'ayagala tubeere nazo; naffe tunaayisanga nga bw'ayagala, kubanga Mukama ayigiriza ng'asinziira ku Lusozi Siyooni, era amateeka ge agaweera mu Yerusaalemu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti Mujje, twambuke eri olusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze kubanga mu Sayuuni mwe mulifuluma amateeka, n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.