Isaiah 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aliramula wakati w'amawanga, alisalirawo abantu bangi; ebitala byabwe balibiweesaamu enkumbi, n'amafumu gaabwe baligaweesaamu ebiwabyo. Eggwanga teririgalulira ggwanga linnaalyo kitala, era tebaliddayo kuyiga bya ntalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alisala enkaayana z’amawanga, aliramula emisango gy’abantu bangi, era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi, n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era aliramula mu amawanga, era alinenya abantu bangi; era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n'amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo: eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliramula amawanga, abantu bangi n'abatabaganya. Ebibadde ebyokulwanyisa byabwe balibiweesa, ne babifuula ebintu ebirala: ebibadde ebitala byabwe, balibiweesa, ne babifuula enkumbi, n'amafumu gaabwe ne bagafuula ebiwabyo. Tewaliba ggwanga likwata byakulwanyisa kulumba ggwanga linnaalyo, era tewaliba nate kutendekebwa mu bya ntalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era aliramula mu mawanga, era alinenya abantu bangi: era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n'amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.