Isaiah 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe nnyumba ya Yakobo, jjangu, gira tutambulire mu kitangaala ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe ennyumba ya Yakobo, mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe ennyumba ya Yakobo, mujje tutambulire mu musana gwa Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale, mmwe bazzukulu ba Yakobo, mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe ennyumba ya Yakobo mujje tutambulire mu musana gwa Mukama.