Isaiah 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyabulidde abantu bo, ennyumba ya Yakobo, kubanga ensi ejjudde abalaguzi abava e Buvanjuba, n'abakola eby'endagu nga Abafilisitiini; bakwatagana mu ngalo n'abagwira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wayabulira abantu bo ab’ennyumba ya Yakobo, kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba, n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti, era basizza kimu ne bannamawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga waleka abantu bo, ennyumba ya Yakobo, kubanga bajjudde abasawo okuva ebuvanjuba, era balaguzi nga Abafirisuuti, era bakuba mu ngalo ne bannamawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda, oyabulidde abantu bo, bazzukulu ba Yakobo, kubanga ensi yaabwe yonna bagijjuzizza eby'obulogo ebiva ebuvanjuba, era bafuuse balaguzi ng'Abafilistiya, era bassa kimu n'abagwira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga waleka abantu bo ennyumba ya Yakobo, kubanga bajjudde empisa ezaava ebuvanjuba, era balaguzi nga Abafirisuuti, era bakubagana mu ngalo n'abaana b'ab'amawanga.