Isaiah 20:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka omuduumizi omukulu mwe yayingirira mu Asudodi nga Sarugoni kabaka wa Assuri amutumye, n'akizinda n'akiwamba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka Talutani omuduumizi w’oku ntikko mwe yajjira mu Asudodi ng’atumiddwa Salugoni kabaka we Bwasuli n’alwana ne Asudodi n’akiwamba;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka Talutani omuduumizi ow'okuntiko mwe yajjira e Asudodi, ng'asindikiddwa Salugoni kabaka w'e Bwasuli, n'alwana ne Asudodi n'akimenya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka omuduumizi w'eggye mwe yalumbira Ekibuga Asudoodi, ng'atumiddwa Sarugoni Kabaka wa Assiriya, omuduumizi oyo yakikuba n'akiwamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka Talutani mwe yajjira e Asudodi, Salugoni kabaka w'e Bwasuli bwe yamugaba, n'alwana ne Asudodi n'akimenya;