Isaiah 20:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu budde obwo, Omukama yayogera ng'ayita mu Yisaaya mutabani wa Amozi n'agamba nti: “Genda weesumulule ekikutiya mu kiwato, onaanule n'engatto mu bigere.” N'akola atyo, n'ayitanga nga yeeyambudde n'ebigere nga byereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’ayogera ne Isaaya mutabani wa Amozi nti, “Genda osumulule ebibukutu mu kiwato kyo era oyambulemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo n’atambula engatto ng’aziggyemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo Mukama n'ayogerera mu Isaaya mutabani wa Amozi, nti, “Genda osumulule ekibukutu mu kiwato kyo era oggyemu engatto yo mu bigere byo.” N'akola bw'atyo n'atambula nga talina na ngatto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera kye kimu ekyo, Mukama n'agamba Yisaaya mutabani wa Amozi nti: “Genda weeyambulemu ekikutiya ky'oyambadde, era weenaanulemu n'engatto mu bigere.” Yisaaya n'akola bw'atyo, n'atambula ng'ali bwereere era nga tayambadde na ngatto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu biro ebyo Mukama n'ayogerera mu Isaaya mutabani wa Amozi, nti Genda osumulule ekibukutu mu kiwato kyo era onaanule engatto yo mu kigere kyo. N'akola bw'atyo ng'atambula bwereere nga talina na ngatto.