Isaiah 20:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba nti: “Ng'omuweereza wange Yisaaya bw'amaze emyaka esatu ng'atambula yeeyambudde, nga n'ebigere byereere, ng'akabonero n'ekyewuunyo eri Misiri ne Kuusi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ng’omuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero n’ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayogera nti, “ Ng'omuddu wange Isaaya bwe yatambula emyaka esatu nga talina ngatto mu bigere bye, okuba akabonero n'ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Omuweereza wange Yisaaya amaze emyaka esatu ng'atambula ali bukunya, okulaga ebirituuka ku b'e Misiri n'ab'e Kuusi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera nti Ng'omuddu wange Isaaya bwe yatambulira emyaka esatu obwereere nga talina na ngatto okuba akabonero n'ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi;