Isaiah 20:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne kabaka wa Assuri bw'alitwala atyo abasibe ba Misiri n'abawaŋŋangusibwa ba Kuusi nga bali bwereere n'ebigere nga byereere, abato n'abakulu, nga n'obutuuliro buli bweru, ekitajja eri Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bw'atyo kabaka w'e Bwasuli alitwala Abamisiri nga basibe, wamu n'ab'e Kuusi, abato n'abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, n'amakugunyu gaabwe nga tegabikkiddwako, okukwasa Misiri ensonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne kabaka wa Assiriya bw'atyo bw'alitwala abasibe ab'e Misiri n'ab'e Kuusi, abato n'abakulu, nga bali bukunya era nga tebambadde na ngatto, n'amakugunyu gaabwe nga tegabikkiddwako, ekyo kiswazeswaze Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'atyo kabaka w'e Bwasuli bw'alitwalira ddala abasibe ab'e Misiri, n'abo abagobebwa ab'e Kuusi, abato n'abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, n'amatako gaabwe nga tegabikkiddwako, okukwasa Misiri ensonyi.

Recommended Reading