Isaiah 20:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo abatuuze b'oku lubalama lw'ennyanja baliŋŋamba nti: ‘Laba, kino kye kituukiridde abo be twesiganga era gye twaddukira batuyambe okutuwonya Assuri. Leero ffe tunaasumattuka tutya?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw’ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w’e Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw'ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekituuse ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w'e Bwasuli! kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya? ’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abantu ab'oku lubalama lw'ennyanja baligamba nti: ‘Mulabe ekituuse ku be twali twesiga okututaasa Kabaka wa Assiriya! Kale olwo ffe tuliwona tutya?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oyo atuula ku ttale lino ery'ennyanja alyogerera ku lunaku luli nti Laba, bwe lifaanana bwe lityo essuubi lyaffe, gye twaddukira okubeerwa okulokoka eri kabaka w’e Bwasuli: naffe tuliwona tutya ffe?