Isaiah 21:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obubaka ku ddungu eririraanye ennyanja: Nga kibuyaga afuuwa mu nsi y'emaserengeta, ajja ng'ava mu ddungu, ng'ava mu nsi ey'entiisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja: Ng’embuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi ey’obukiikaddyo, bw’atyo alumba bw’ava mu ddungu eririraanye ensi etiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugugu ogw'eddungu ery'ennyanja. Nga kibuyaga ow'omu bukiikaddyo bw'ayita amangu, bwe watyo bwe wava mu ddungu, mu nsi ey'entiisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye byalangibwa nga bifa ku Ddungu Eririraanye Ennyanja. Nga kibuyaga ava ebukiikaddyo bw'ayitira mu ddungu, n'akabi bwe kaliva katyo mu nsi ey'entiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugugu ogw'eddungu ery'ennyanja. Nga kibuyaga ow'omu bukiika obwa ddyo bw'ayita amangu, bwe watyo bwe wava mu ddungu, mu nsi ey'entiisa.