Isaiah 21:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wattu bantu bange, mwe abasekuddwa mu gguuliro lyange, ekyo kye mpulidde ew'Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kye mbabuulira kati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro, mbategeeza kyempulidde okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Woowe ggwe okuwuula kwange era eŋŋaano ey'omu gguuliro lyange, ebyo bye mpulidde ebivudde eri Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, mbibabuulidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi abantu bange Abayisirayeli, mubadde muwuulibwa ng'eŋŋaano eri mu gguuliro lyange. Naye kati mbatuusizzaako amawulire ag'ebyo bye mpulidde, ebivudde eri Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Woowe ggwe okuwuula kwange era eŋŋaano ey'omu gguuliro lyange: ebyo bye mpulidde ebivudde eri Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, mbibabuulidde.