Isaiah 21:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukuumi n'agamba nti: “Buubuno bukya, kyokka ate n'ekiro kijja. Oba mwagala kubuuza, mubuuze, mukomeewo nate.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukuumi ayanukula bw’ati nti, “Bulikya, era buliziba. Bw’obaako ne ky’obuuza kibuuze okomewo nate.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukuumi n'ayogera nti, “Bulikya era buliziba. bwe mwagala okubuuza, mubuuze, mukyuke mujje.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukuumi n'agamba nti: “Bujja kukya era buzibe. Bwe mwagala okubuuza, mubuuze, mukyuke, mujje.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukuumi n'ayogera nti Enkya ejja, era n'ekiro: bwe mwagala okubuuza, mubuuze: mukyuke mujje.