Isaiah 21:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
muleetere abayonta amazzi; mmwe abasula mu Teema, abadduka mubasisinkane n'akookulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
muleetere abalumwa ennyonta amazzi; mmwe ababeera mu Teema, muleetere abanoonyi b’obubudamu emmere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo eyalumwa ennyonta baamuleetere amazzi; abatuula mu nsi ey'e Teema baasisinkana abadduse n'emmere yaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe abatuuze b'e Teema, abayonta abaddukira gye muli mubawe amazzi, n'abayala mubawe kye banaalya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo eyalumwa ennyonta baamuleetera amazzi; abatuula mu nsi ey'e Teema baasisinkana abadduse n'emmere yaabwe.