Isaiah 21:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga badduse kitala, badduse ekitala ekisowole, mutego oguleegeddwa, n'okunyiinyittira kw'olutalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Badduka ekitala, badduka ekitala ekisowole, badduka omutego ogunaanuddwa, badduka n’akabi k’entalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga badduka ebitala, ekitala ekisowole, n'omutego ogunaanuddwa, akabi k'olutalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Badduka bitala ebisowoddwa, na mitego gya busaale eginaanuddwa; badduka kibambulira kya lutalo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga badduka ebitala, ekitala ekisowole, n'omutego omunaanule, n'obubi bw'entalo.