Isaiah 21:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama kino ky'aŋŋambye nti: “Mu bbanga ery'omwaka, ng'obalira ku myaka gy'omupakasi, ekitiibwa kya Kedari kyonna kiriggwaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati Mukama bw’aŋŋamba nti, “Mu mwaka gumu, ng’endagaano gye bakolera omukozi bw’eba, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kirikoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti, “Omwaka nga tegunnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kiriggwaawo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Afugabyonna aŋŋambye nti: “Omwaka gumu olunaggwaako gumu ng'ogulagaanibwa akolera empeera, tewaliba kitiibwa kya Bakedari kyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Omwaka nga tegunnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kiriggwaawo: