Isaiah 21:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalisigalawo ku basajja abakubi b'obusaale, abazira b'omu Kedari, baliba batono.” Omukama Katonda wa Yisirayeli y'ayogedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku b’obusaale abaliwona, ne ku basajja abalwanyi abazira ab’e Kedali, walisigalawo batono.” Mukama Katonda wa Isirayiri ayogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abalifikkawo ku muwendo gw'abalasi, abasajja ab'amaanyi ab'oku baana ba Kedali, baliba batono: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, akyogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalasi b'obusaale mu Bakedari be basingayo obuzira, naye abaliwonawo batono. Nze Mukama Katonda bwe ntyo bwe ŋŋambye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abalifikkawo ku muwendo gw'abalasi, abasajja ab'amaaayi ab'oku baana ba Kedali, baliba batono: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, akyogedde.