Isaiah 21:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabuulirwa okulabikirwa okuzibu: Ow'enkwe alyamu enkwe, n'azikiriza omuzikiriza. Ggwe Elamu, lumba; ggwe Mediya, zinda! Okusinda kwonna kwe yaleeta ndikukomya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nfunye okwolesebwa okw’entiisa: alyamu olukwe akola omulimu gwe, n’omunyazi anyaga. Eramu, lumba! Obumeedi zingiza! Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwolesebwa okuzibu kumbuuliddwa; omulyazaamaanyi alyazaamaanya, n'omunyazi anyaga. Yambuka, ggwe Eramu, zingiza, ggwe Obumeedi; okusinda kwonna kwe yaleeta, nkukomezza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndabidde mu kulabikirwa ebizibu ebirigwawo. Ndabye omulyazaamaanyi ng'alyazaamaanya, n'oyo azikiriza, ng'azikiriza! Ggwe eggye lya Elamu, lumba; naawe eggye lya Mediya, zingiza, Katonda amalewo ennaku yonna Babilooni gy'aleeta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwolesebwa okuzibu kumbuuliddwa; omulyazaamaanyi alyazaamaanya, n'omunyazi anyaga. Yambuka, ggwe Eramu: zingiza, ggwe Obumeedi; okussa ebikkowe kwayo kwonna nkukomezza.