Isaiah 21:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo obulumi bunzijudde amakendegere; okulumwa kunkutte ng'okw'omukazi ng'azaala; ennaku ennyinze teŋŋanya na kuwulira, entiisa enkutte teŋŋanya na kulaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa, n’obulumi bunkwata, ng’omukazi alumwa okuzaala; nnyiize olw’ebyo bye mpulira, bye ndaba bimazeemu amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiwato kyange kyekivudde kijjula okubalagalwa; obulumi bunkutte ng'obulumi bw'omukazi alumwa okuzaala; nnyoleddwa n'okuyinza ne ssiyinza kuwulira; nkeŋŋentereddwa n'okuyinza ne ssiyinza kulaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obulumi bwe mpulira, bujula na kunzita! Ndi ng'omukazi alumwa okuzaala, obulumi tebuŋŋanya kulaba na kuwulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekiwato kyange kyekivudde kijjula okubalagalwa; obulumi bunkutte ng'obulumi bw'omukazi alumwa okuzaala: nnyoleddwa n'okuyinza ne ssiyinza kuwulira; nkeŋŋetereddwa n'okuyinza ne ssiyinza kulaba.