Isaiah 21:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga kino Omukama ky'aŋŋamba: “Genda, ssaawo omukuumi, ye ategeeze kyonna ky'anaaba alabye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino Mukama ky’aŋŋamba nti, “Genda ofune omukuumi akuleetere amawulire ku ebyo by’alaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti, “Genda osseewo omukuumi; ategeeze ky'anaalaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba nti: “Genda oteekewo omukuumi, alangirire ky'anaalabayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Genda osseewo omukuumi; ategeeze ky'analaba: