Isaiah 21:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'alaba ebigaali, abeebagazi ku mbalaasi babiri babiri, abeebagadde endogoyi n'abali ku ŋŋamiya, afeeyo okutegereza, ategereze nnyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’alaba amagaali n’ebibinja by’embalaasi, n’abeebagazi ku ndogoyi oba abeebagazi ku ŋŋamira yeekuume, era yeegendereze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era bw'alabanga ekitongole, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu, ekibiina ky'endogoyi, ekibiina ky'eŋŋamira, awuliranga nnyo nga yeetegereza bulungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'alaba ekibinja ky'ababiribabiri, abeebagadde embalaasi, n'abali ku ndogoyi era n'abali ku ŋŋamiya, yeetegereze bulungi, yekkaanye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bw'alabanga ekitongole, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu, ekibiina ky'endogoyi, ekibiina ky'eŋŋamira, awuliranga nnyo nga yeetegereza bulungi.