Isaiah 21:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo eyali akuuma n'akoowoola nti: “Ayi Mukama, buli lunaku nnyimiridde ku munaala olunaku lwonna, era buli kiro ndi mu kifo kyange ekiro kyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukuumi n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala, buli kiro mbeera ku mulimu gwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukuumi n'ayogera mu ddoboozi ery'omwanguka nti, “Ayi Mukama, bulijjo emisana nnyimirira ku kigo awakuumirwa, era nkeesa obudde nga ndi ku mulimu gwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukuumi n'aleekaana mu ddoboozi ng'ery'empologoma, nti: “Mukama wange, nkuuma wano emisana n'ekiro!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akaaba ng'empologoma nti Ai Mukama, bulijjo emisana nnyimirira ku kigo awakuumirwa, era nkeesa obudde nga ndi muggalire.