Isaiah 21:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, abasajja bajja mu bigaali, n'ab'oku mbalaasi babiri babiri.” Ye kwe kuddamu nti: “Agudde, Babiloni agudde! N'ebifaananyi bye byonna ebya balubaale abyasirizza ku ttaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali, ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi. Era ayanukula bw’ati nti, ‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde. Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, laba, wajja ekitongole ky'abantu, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu.” N'addamu n'ayogera nti, “Babbulooni kigudde, kigudde; n'ebifaananyi byonna ebyole ebya bakatonda baakyo bibetenteddwa wansi ku ttaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago ne wajja babiribabiri abeebagadde embalaasi. Omukuumi n'agamba nti: “Babilooni kigudde, kigudde, n'ebifaananyi byonna ebyole ebya balubaale baakyo bimenyese, biri ku ttaka we bigudde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era, laba, wajja ekitongole ky'abantu, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu. N'addamu n'ayogera nti Babulooni kigudde, kigudde; n'ebifaananyi byonna ebyole ebya bakatonda baakyo bimenyese okutuuka ku ttaka.