Isaiah 22:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wakati w'ebigo ebibiri mwakolawo akayanja okukuŋŋanyizaamu amazzi g'Ekidiba Ekikadde. Kyokka temwatunuulira Oyo Eyakola ebyo, yadde okulowooza ku oyo eyabitegeka okuva ddi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri, n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde, naye tewatunuulira Oyo eyakisima, wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwasima ekidiba omuterekebwa amazzi ag'ekidiba eky'edda wakati wa babbugwe bombi, naye ne mutatunuulira oyo eyakisima oba okumussaamu oyo ekitiibwa eyakiteekateeka edda ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne musima oluzzi mu kibuga wakati, mwe muba mukuumira amazzi agava mu kidiba kye mwalinawo edda. Naye ne mutafa ku Oyo eyategeka bino obw'edda, era eyasalawo nti bibeewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne musimira ekidiba amazzi ag'ekidiba eky'edda wakati wa babbugwe bombi: naye ne mutatunuulira oyo eyagira kino, so temwalowooza oyo eyakikola edda ennyo.