Isaiah 22:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Omukama Katonda w'Amagye yakuyita okukaaba n'okukungubaga, okwemwa enviiri n'okwambala ebikutiya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe, n’okwemwako enviiri n’okwambala ebibukutu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ku lunaku luli Mukama, Mukama ow'eggye, n'ayita abantu okukaaba n'okukungubaga, n'okumwa ebiwalaata n'okwesiba ebibukutu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu kiseera ekyo, Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye yali abayita mmwe mukaabe amaziga mukungubage, mwemwe emitwe, mwambale ebikutiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku lunaku luli Mukama, Mukama ow'eggye, n'ayita abantu okukaaba amaziga n'okuwuubaala n'okumwa ebiwalaata n'okwesiba ebibukutu: